Amawulire

South Korea etteeka ku benzi livuddewo

Ali Mivule

February 26th, 2015

No comments

couples say i do

Abenzi mu ggwanga lya South Korea bali mu kujaganya oluvanyuma lwa kkooti etaputa ssemateeka okujjawo etteeka eribakwato era nga kati baakwenda kyeere awatali abakuba ku Mukono.

Kkooti eno ejjeewo etteeka lino erimaze kumpi emyaka 60  nga era omuntu abadde asibwa emyaka 2.

Abalamuzi 9 abatuula mu kkooti eno nga bakulembeddwamu Park Han-Chul bategezezza nti yadde obwenzi kikolwa kibi, naye ate obulamu bw’abanansi obwomunda tebusaanye kuyingirirwa.

Mu myaka 6 egiyise, abantu abasoba mu 5000 baguddwako emisango gy’onwenzi nga omwaka oguwedde baabadde 900.