Ebyobulamu
Rubaga ekubiddwa mu mbuga z’amateeka
Waliwo omukyala akubye eddwaliro lye Rubaga mu mbuga z’amateeka ng’ayagala kusasulwa obukadde 50 okusobola okulongoosebwa
Halima Hami agamba nti mu mwezi gw’okubiri mu mwaka 2014 yatandika okunywa eddagala era nga nnya omwezi gw’omusanvu n’azaala omwana w’obulenzi
Omukyala ono agamba nti wabula mu kuzaala yayulika ate omusawo n’atamutunga era nga kati bwafuukira ddala obulwadde.
Omukyala ono agamba nti abasawo abakugu gy’alaze bamuwadde amagezi okulongoosebwa naye nga talina ssente era ng’omusango agusalira be Lubaga
Ng’ayita mu bannamateeka be aba Kiyonga-B-Asaasira and Company advocates , omukyala ono agamba nti takyasobola na kwegatta na bba era nga ayolese okukyaayibwa okutuuka ng’alongooseddwa n’atereera
Abe Lubaga balina ennaku 15 okwewozaako