Abantu 31 bafiridde mu kabenje wakati wa bus ne loole mu ggwanga lya Morroco era ngabasinze okuffa babadde baana basomero ababadde bava mu misinde gy’empaka.
Abantu abalala 9 balumiziddwa mu kabenja kano akagudde mu kibuga ekimanyiddwa nga Tan-Tan, ekisangibwa mu maseregenta g’eggwanga lino.
Okunonyereza kulanga ng’obubenje bwebweyongedde mu ggwanga lya Morocco era ng’abantu 10 bebafiira mu bubenje buli lunaku.
