Ebyobulamu

Abasoba mu 130 balongoseddwa Hernia

Ali Mivule

April 27th, 2015

No comments

Hernia

Abalwadde ba Hernia abasoba mu 130 beebalongoseddwa mu ddwaliro lye Gombe mu nkambi emaze ssabiiti nnamba

Enkambi eno etegekeddwa aba Habib Medical School of the Islamic University in Uganda n’eddwaliro lye Gombe

Omusawo mu ddwaliro e Gombe  Dr Ssekitoole Badru agamba nti bataddewo enkambi eno okuyambako abantu abangi abafuna obulwadde buno ate nga bangi beeyuna basawo ba kinnansi

Dr Ssekitoole agamba nti buli lunaku bafuna abalwadde ba Hernia abali wakati w’ababiri n’abana ate nga baba bakereeye era oluusi bafa

Hernia abeera kizimba ku lubuto era nga kiba kiruma ng’omwana kw’omulabira kwekufuna obuzibu mu kukolola, okukola dduyiro n’okugenda mu kabuyonjo.

Okumwewala omuntu asaanye okwewala okusitula ebizito, okutuula obubi,omugejjo, okulya obubi n’okufuuwa sigala.