Ebyobulamu
Gwebalongoosa obwongo akuze
Omwana eyalongosebwamu ekitundu ky’obwongo ekisinga obunene awezezza emyaka 6.
Kaliysha, yazaalibwa n’ebinyama ebyaali bikutte ku bwongo, oluvanyuma n’alongosebwa ekitundu ky’obwongo ekisinga era omutwe kumpi mukalu.
Abasinga okuli ne bazadde be baali bamuwaddeyo oluvanyuma lwokulongosebwa, wabula kyewunyisa nga akyali mulamu.
Bbo bazadde b’omwana ono bagamba yadde nga muwala waabwe akyali mulamu naye awangadde nyo n’obulumi.
Yadde nga akyali mulamu, ebintu ebisinga tabitegera era alimu akazoole nga nebisera ebisinga asiiba mu dwaliro.