Ebyobulamu

Mugemese abaana

Ali Mivule

June 9th, 2015

No comments

immunisation 2

Ssentebe we gombolola ye Kiyuni e Mubende Paul Sserumaga Bazzadde alabudde abazadde abeesulideyo ogwanagamba mu kugemesa abaana ekiviirako abamu ku baana bano okufuna obulemu nga bakyali bano.

Sserumaga ategezeezza ng’abamu ku bazadde bwebatafaayo kugemesa baana baabwe omuli endwadde nga Polio, olukusense,n’endwadde endala ez’obulabe ezirumbagana abaana ekizze kivirako abamu ku baana okufa nga bakyali bato nga nabaamu bafunye obulemu nga kiva ku butagemwa ate nga nabamu ku bazadde tebamalayo mirundi egilina okugemwa abaana.

Ono asabye abazadde okwettanira amalwaliro ga gavumenti nga bali mbuto wamu n’okutwalanga yo abaana okubagema mu kifo ky’okunenya gavumenti nti tessa eddagala malwaliro.