Amawulire
Abaagudde ku kabenje bakyaali bubi
Abantu bataano kw’abo abaagudde ku kabenje e Masanafu basiibuddwa
28 bakyaali mu mbeera mbi.
Omwogezi w’eddwaliro lye Mulago, Enock Kusaasira agamba nti abali obubi bamenyese nnyo
Omu ku bano ye conductor wa coaster eyamenyese amagulu gombi
Gwetwogeddeko naye Moses Muganga agamba nti coaster eno yabadde tesiba era bw’etyo yevulungudde nga batuuka e masanafu abantu abasoba mu 30 nebalumizibwa.
Mu ngeri yeemu, bibiri ku bantu abaddusibwa e Mulago oluvanyuma lw’okugwirwa ekizimbe olunaku lwajjo bakubye ku matu
Aisha Kamara ne Wasswa Mayiga beebazze bakuba ku matu nga bano babaadde basuubuzi ku kizimbe kino.