Ebyobulamu
Abaafirwa omwana bagenze mu kkooti
Waliwo abafumbo abakubye ab’eddwaliro lye Mengo mu mbuga z’amateeka nga babalanga kuvaako kufa kwa mwana waabwe
Ronald Kitaka ne Ritah Nantumbwe bagamba nti omwana waabwe yali mulamu kyokka omusawo omuyiga n’amukuba empiso eyamuddugaza omulundi gumu n’ekyaddako kufa
Bano bagamba nti bazaala omwana w’obulenzi ng’azitowa kumpi kilo ssatu n’ekitundu era ng’omukyala basala musale
Omukyala ono ng’amaze okuzaala yaweebwa ekitanda era ng’eno omusawo omuyiga gyeyamusanga ng’alina empiso ennene n’entono nga zirimu eddagala
Bano bagamba nti omusawo omuyiga ono amanyiddwa nga Sophie Namuli yakuba bebi empiso enene ate maama n’amukuba akatono.
Nga kino kiwedde, omwana yatabuka nebamussa ku mukka okumuyambako okussa era okwekebejja omwana bakizuula nti okuwona kyaali kizibu
Omwana ono eyali atuumiddwa Emmanuel Kitaka Heavens, era teyalama nga ssaawa zaali ziwera mwenda ez’olweggulo n’afa
Okunonyereza okwakolebwa abasawo kwalaga nti omwana yafa ddagala eryamukubwa nga kati abafumbo bano balumiriza ab’eddwaliro okubawa omuyiga okyavaako omwana we okufa
Bagaala era ab’eddwaliro lye Mengo babaliyirire olw’okufiirwa omwana waabwe nga bagaala n’omusawo omukulu eyalina okubakolako okukangavvulwa olw’okutuma omuyiga ekyatta omwana waabwe
Abawaabiddwa abalala kuliko Dr Rose Mutumba, akulira eddwaliro, omumyuka we Dr William Bukenyane Dr Martha Namusobya omusawo ku ddwaliro e Mengo
Omusango guli mu kkooti enkulu ng’ab’eddwaliro balina ennaku 15 okwewozaako