Ebyobusuubuzi
Abasuubuzi bagaanye okusenguka
Abamu ku basubuuzi ku kibangirizi ky’ekisaawe kye Nakivubo abagobeddwa ekitongole kya KCCA basabye baweebweyo akabanga okutuuka ku nkomerero y’omwaka guno basobole okufuna gyebagenda.
Bano abasangiddwa nga bakyalemedde mu buyumba obugambibwa okusengulwa essaawa yonna bagamba KCCA esooke ebaddizze sente za layisinsi zebazze basasula.
Bano okugobwa kyaddiridde akakiiko ka palamenti akateekebwawo okunonyereza ku kibba ttaka mu Kampala okulagira KCCA okusengula ebizimbe byonna ebyetolodde ekisaawe kye Nakivubo.