Eyali ssenkaggale w’ekibiina kya FDC Dr Kiiza Besigye wakuddamu okukuba kampeyini ze ku kifo ky’anakwatira ekibiina kya FDC bendera mu kulonda kwa 2016 oluvanyuma lw’okutuuka ku nzikiriziganya ne poliisi.
Olwokuna oluwedde poliisi yalinya eggere mu nteekateeka za Besigye zeyali alina okukuba e Kasangati ne Kawempe oluvanyuma lw’okutegeeza nti teyajitegezaako mu butongole.
Akulira bakakuyege ba Besigye Geoffrey Ekanya agamba oluvanyuma lw’okwogerageranya ne poliisi tebasuubira kubalemesa okugyako okubakuuma.
Mungeri yeemu ye ssenkaggale wa FDC Maj Gen Mugisha Muntu wakutandika kampeyini ze olunaku olwokuna n’olukungaana olwokwebuuza mu tawuni ye Hoima.
Ebyonga bikyali bityo omubaka wa , Aruu County Odonga Otto asuubirwa okuyitibwa mu kakiiko k’ekibiina kya FDC akakwasisa empisa abitebye ku neyisa ye.
Wiiki ewedde Otto y’akunga ekibinja ky’abantu mu bukiika kkono bw’eggwanga okuwakanya Amama Mbabazi okwesimbawo nga bamulumiriza okubulankanya ensimbi ezaali ez’okuddukirira abantu abatabangulwa olutalu mu bukiika kkono bw’eggwanga.
Akola nga akulira ekibiina kya FDC mu kiseera kino Regan Okumu ategezezza nga ebyogerwa Otto bwebitali birowoozo bya FDC oba ababaka okuva mu bukika kkono bw’eggwanga kuban ga bbo nga aba FDC betegefu okwaniriza Mbaabzi.