Ebyobulamu
Okukendeeza abakyala abafiira mu sanya- enteekateeka ezze
Muk’omukulembeze w’eggwanga Janat Museveni atongozezza kawefube w’okukendeeza omuwendo gw’abakyala n’abaana abafiira mu nsanya mu bitundu bye Karamoja
Enteekateeka eno ewagiddwa aba gavumenti ya Korea era nga yakussibwa mu nkola ab’ekibiina ky’amawanga amagatte abakola ku nsonga z’abaana ekya UNICEF
Museveni agambye nti obuzibu bw’abakyala abafa nga bazaala bungi nnyo e Karamoja era nga basuubira nti kino kyakuyambako nnyo.
Minisita w’ebyobulamu Dr Elioda Tumwesigye agambye nti obuwumbi 27 obussiddwamu bwakuyamba okutereeza ebyentambula y’abakyala b’embuto okutuuka mu malwaliro, okugula ebyuma ebiyambako kko n’okukubiriza abakyala okuzaalira mu malwaliro.