
Tiimu ya Uganda ey’okubaka the she Cranes ewanduse mu mpaka z’ensi yonna ez’okubaka eziyindira mu ggwanga lya Australia.
Uganda ekubiddwa Jamaica ku goolo 59-47 nga ne Malawi yabakuba mu luzanya olwasooka mu zisooka eziddirira ezakamalirizo.
Rachael Nanyonga asuuse goolo 29 sso nga kaputeeni Peace Proscovia ateebye 18 .
Uganda kati yakuzanya New Zealand mu muzanyo ogusembayo nga tekyalina kigendererwa.