Poliisi ye Kawaala eggalidde omuwala eyasudde omwana ku mizigo n’agenda okwetunda.
Sharon Najjemba ow’e Kawaala Zooni 2 yakwatiddwa poliisi ye Kawaala oluvannyuma lwa baliraanwa be okugenda ku poliisi n’omwana ono gwe bagambye nti yamusudde obudde bukya.
Najjemba okukwatibwa kiddiridde omu ku batuuze be Kawaala okumusanga mu kifo ekimu mu Kampala omwetundira bamalaaya gy’abadde yeekukumye nga kigambibwa nti okumusuulawo abadde agenze kwetundira eyo.
Najjemba ategeezezza poliisi nti omusajja abadde takyalabirira mwana nga yabasulawo n’agenda mu kyalo e Bugerere nga n’oluusi babadde bakuba ku ssimu ze nga tazikwata kwe kusalawo yeetunde asobole okufuna ky’alya n’omwana we.
Agnes Kiiza akola ku nsonga z’abaana n’amaka ku poliisi eno ategeezezza nti Najjemba agenda kutwalibwa mu kkooti avunaanibwe omusango gwokutulugunya omwana wabula n’asaba abasajja okuyamba nga ku bakazi baabwe nga bali mu buzibu kuba oluusi obuzibu bwe batuukako buva ku basajja butabalabirira.