Katikkiro wa Buganda owek Charles Peter Mayiga asabye abantu okulemera ku byebakola lwebanaafuna byebeetaaga.
Ng’ayogerako eri abantu be Wabigalo ababadde bakungaanye okusonda ettofaali, Katikkiro agambye nti ssi kyangu okuzza Buganda ku ntikko mu bigambo kyokka nga ssinga abantu bamanya kyebagaala nebakiremerako, bingi ebiggya okufunibwa
Eno Katikkiro gy’asinzidde n’asaba abantu okulonda abo bokka abawagira enteekateeka za Buganda
Obwedda katikkiro buli gy’ayita ng’ayanirizibwa abantu wakati mu ssanyu
Tubafunye
Abantu basanyukidde Katikkiro
Olwaleero Katikkiro alumaze asolooza ttofaali mu bitundu bye Makindye ng’ayiseeko ku St Janan Luwum, e Bukasa, Kansanga Miracle center era nga wakumalira Gaba