Entiisa ebuutikidde abatuuze ku kyalo Nkomangani mu Kyegegwa abaana 3 ababadde bagenze okusima Kamuuje wansi bwebabuutikiddwa ettaka omu n’afirawo.
Poliisi okuva e Kyegegwa ng’eyambibwako abatuuze basobodde okusimayo omulambo gw’omwana ono ategerekese nga SsandeMuseveni Sande ow’emyaka 14.
Kitaawe w’omwana ono Puluvisi Gamukama ategezeezza nga mutabani we bweyagaana okusoma ‘natandika okupakasa ku kyalo nga okufa kwa mutabani we kumukubye wala.
Akulira okunonyereeza ku buzzi bwe misango e Kyegegwa Godliver Kemigisha ategezeezza ng’omulambo gw’omugenzi bwegutwaliddwa mu ddwaliro lya Kyegegwa health Centre 1V okwekebejjebwa nga n’okunonyereza ku nfa y’omugenzi bwekugenda maaso.