Ebyobulamu
Bakwekalakaasa lwa ddwaliro
Abatuuze mu gombolola ye Kyondo mu district ye Kasese bateekateeka kwekalakaasa nga bawakanya eky’okukoma okugaba ebitanda mu ddwaliro lye Kyondo.
Ssabiiti ewedde, akulira ebyobulamu mu district eno Dr Peter Mukobi okukoma okugaba ebitanda
Bano baali abakulu babajjako emitwaalo 2 ate abato mutwaalo ate ng’abakyala abazaala bagyibwaako emitwalo ebiri n’ekitundu.
SSentebe w’akakiiko akakulira eddwaliro, Wilson Babulya agamba nti ensimbi zebabadde bagyako abantu nga zayisibwa eggombolola era nga ababadde bazikozesa okulabirira abasawo.
Wabula akulira ensimbui zino tezilina kugyibwa ku bantu kubanga ddwlairo lya gavumenti wakiri obutagaba bitanda bwekiba kyetaagisa ensimbi.
Councillor w’ekitundu kino, Jovenale Muke agamba nti eddwaliro lino libadde libayamba kubanga libadde teriseera nnyo.