Amawulire
Omusawo eyagaba omwana wa munne akaligiddwa
Omusawo akola ku byokuzaalisa awumuziddwa emyaka 2 nga ono alangibwa lwakweyisa mu ngeri etasaana.
Dr Asinja Kapur y’awumuzidwa nga avunaanibwa gwakukyusa biwandiiko by’omwana omulenzi eyali yakazaalibwa ,olwo bananyini mwana n’abawamu omulambo gw’omwana omuwala.
Akakiiko akagatta abasawo kakasiza nga Dr. Asinja bweyakyusakyusa ebiwandiko ,nga bino byebyali biraga nga abafumbo ababiri bwebali bazadde omwana omulenzi wabula yye n’abawa mu omuwala ate nga mufu.
Mu mwaka gwa 2006 omukyala Sauda Nabakiibi ne bba Farouk Bukenya, bakeberebwa endaga buttoned munkola ya DNA nekizulibwa nga omusayi gwabwe gwali tegukwatagana na mulambo gwomwana omuwala gwebali babawadde.
Akulira akakiiko kano , Dr. Joel Okello agamba nti bakyanonyereza ,nga bakyalina n’emisango egisoba mu 35 egyikwatagana n’okubuzabuza abaana mu ddwaliro e Mulago.
Wabula yye omwogezi w’eddwaliro lye mulago Enock Kusaasira nga ono yye omwogezi we ddwaliro lye Mulago, agamba nti kituufu doctor ono yaliko omukozi waabwe , naye nga amaze emyaka 2 bukyanga ava mu dwaliro lino, nga ebiseera byeyekoleramu mu dwaliro lino yali akyala muyizi .