Skip to content Skip to footer

Poliisi yebulungudde amaka ga Lukwago

Poliisi yebulungudde amaka ga loodi meeya Kampala Erias Lukwago oluvanyuma lw’okuwera okugenda ku ofiisi z’akakiiko k’ebyokulonda okusunsulibwa ku kifo ky’obwa loodi meeya.

Lukwago agamba tafunanga bbaluwa yonna kuva mu kakiiko kabyakulonda kayimiriza kusunsulwakwe nga era ye bamuwa ssaawa 5 ezokumakya agende bamusunsule alinde kwesimbawo.

Lukwago agamba teri kulonzalonza agenda kusunsulibwa.

Twogeddeko n’abamu ku bawagizi ba loodi meeya abaweze okumuwerekera okutuuka e Ntinda asunsulibwe.

Akakiiko k’ebyokulonda wiiki ewedde kayimiriza okusunsulibwa kwa Lukwago ku kifo kya loodi meeya oluvanyuma lwokutegezebwa minisita wa Kampala nti bakyakola ku nongosereza mu tteeka lya KCCA.

Leave a comment

0.0/5