
Abalwanyisa obuli bw’enguzi bagala gavumenti eteeke mu nkola ebyasabiddwa mu alipoota ya ssababalirizi w’ebitabo bya gavumenti.
Kino kigendereddwamu kutaasa nsimbi yamuwi wamusolo okumala goononebwa.
Akulira ekibiina kya Anti Corruption Coalition Uganda Cissy Kagaba agamba ebiseera bingi ebiri mu alipoota ya ssababalirizi 90% bisulibwa muguluka olwo nekikosa empeereza y’emirimu n’okukwata bubi eby’obugagag by’eggwanga.
Kagaba agamba singa tewabaawo kikolebwa baakuvayo n’enkola ey’okuswaza abitongole bya gavumenti ebinatunulira ekyamuli alipoota eno nga banokolayo kimu ku kimu.
Ye akulira ekibiina kya transparency International Peter Wandera ayagala eky’okusasula akasiimo k’abakozi kukolebweko, okwongera ku ddagala mu malwaliro n’ebirala.