Amawulire
Aba Monitor bakiise embuga
Kampuni ya Monitor Publications olunaku lwaleetro ekiise embuga n’okuduukirira emilimu gya ssabasajja kabaka
Abakozi ba Monitor publication etwala Dembe FM batutte obukadde 2 bwebawaddeyo eri omulimu gw’okuzimba amasiro ate kko akakadde ka certificate okuddukanya emilimu gy’obw akabaka
Bano bakulembeddwaamu akulira kkampuni eno Alex Asiimye ategeezezza nga kino bwekikoleddwa okwongera okukwatagana n’abantu byebagaala okuva lwekiri nti Monitor b’ewereeza
Omwogezi w’oludda lwa Monitor, Twaha Mukisa y’ayanjizza ensonga
Katikkiro Charles peter Mayiga asiimye omulimu ogukoleddwa aba Monitor naddala mu kulambika eggwanga