Bya Shamim Nateebwa
Abatuuze be Kabulengwa mu Wakiso baguddemu ekyekango bwe basanze omulambo gw’omwana nga gulengejjera ku kidiba ky’omugagga.
Omugenzi ategerekesse nga Ismail Semakula nga awezza egyobukulu 16,abadde asoma mukibiina ekyomusanvu era nga ekiddiba mwasangidwa kyamutuuze ategerekesse nga Brian Ssengendo nga kirundibwamu byennyanja.
Poliisi ye Nansana nga ekulembeddwamu agitwala Micheal Tayebwa yatuuse mu kitundui n’etwala omulambo e Mulago okwongera okwekebejjebwa wamu n’okulinda abazadde bomwana okuwa sitetimenti.