Bya Benjamin Jumbe
Ssentebbe wakaiikokebyokulonda, omulamuzi Simon Byabakama asabye ebibiina byobufuzi ebyenajawulo okutandka okwetegeka okwomunda olwokulonda kwe byalo okukubye koodi.
Bwabadde alangirira entekateeka egenda okugbererwa, mu kulonda kwe byalo Byabakama nti okulonda kuno, tekuliiko bisanyizo bya buyigirize, yadde ensimbi eza foomu ezokwesimbawo.
Akakiiko akebyokulonda kalangiridde olwanga 21st Nov omwaka guno okulonderako obukiiko obw’ebyalo obwa LC1 ne LC2.
Omulamuzi Simon Byabakama agambye nti okulonda kugenda kutegekebwa mu byalo ebiwerera 59,315 okwetoloola egwanga.
Wabula agambye nti nga besigama ku tteeka lya government eze’bitundu eryakolebwamu enongosereza, kyasalibwawo okulonda kubeere kwakusimba mu migongo gyabo abavuganya olwe bbula lyensimbi.
Kati kitegezeddwa nti okulonda kugenda kubeera kwa dadiika 30 zokka, okwawukana kun kulonda okubaddenga kuzibya obudde.
Okulonda kwakutandika ku ssaawa 5 kukomekerzebwe ku ssaawa 5 neitundu.
Balonzi basubira nti bakutuuka mu bifo ebirondebwamu okuva ku ssaawa 1 eyokumakya ne ssaawa 4.
Okusinziira ku ntekateeka, okunsulamu ab’egwanyiza ebifo kugenda kutandika nga 15 okutukira ddala nga 16th November, ate kakuyege atandike nga 17th akomekerzebwe nga 20th November 2017.
Byabakama mungeri yeemu agambye nti abagenda okuvuganya bakukima form zaabwe nga 24-31st mu mwezi ogwe kkumi wabulanga foomu za bwerere.