Skip to content Skip to footer

Abalamuzi Bediimye Olwaleero

Amakooti gonna tegakoze olwaleero, nga kino kidiridde abalamuzi okutukiriza ekisuubizo ky’abwe eky’okwediima.

Bano okuviira ddala olunnaku olwe gulo nga bayita mu kibiina kyabwe ekya Uganda Judicial officers Association bategeezeza nga bwebatagenda kukola okujako nga government eyogede ku nsonga zokubongeza omusaala.

President w’ekibiina ekitaba abalamuzi mu gwanga, Godfrey Kaweesa, agambye nti okwekalakaasa kuno tebakuwadde komo, okutuusa nga government ekoze ku nsonga zaabwe.

Yyo embeera mu kaseera kano ku kooti ezenjawulo, yakimpoowoze, nga ba puliida bakedde okubaawo okuwoza emisango, kyoka abalamuzi tebalabiseeko.

Mungeri yeemu e Lyantonde  tutegeezedwa nti kooti nayo tezikoze nga bali mu kwekalakaasa.

Kooti yeeno ekulemberwa omulamuzi Taddeo Mulinda, abasibe nebanamateeka bakonkomadde, omulamuzi bwatazze.

Akulira okunonyereza ku buzzi bw’emisango Yunus Kayanja  atubuulidde nti abadde aleese file z’abasi be ku kooti kyoka tayambidwa kuba kooti nzigale.

Ate omuwaabi wa gavumenti mu district eno Shafik Kawalya akakasizza nti kooti tetudde olw’akediimo k’abalamuzi.

Embeere yeemu tutegedeko nti yeeri nemu district nga Jinja, Masaka, Mbale, Mubende nawalala.

Mungeri yeemu twogedeko nabalwanirizi bedembe lyobuntu n’ebanenya government olwobutafa ku balamuzi.

Twogedeko ne Dr Livingston sewanyana akulira ekibina ekya foundation for human Right initiative nagamba nti government erudde ngensonga zabano tezifaako.

Ategezezza nti nti kino kityoboola eddembe lyabasibe emisango gyabwe obutawulirwa.

Leave a comment

0.0/5