MENGO
Bya Shamim Nateebwa
Kamalabyonna wa Buganda, Owek. Charles Peter Mayiiga asabye poillisi okubaako ne kyekoola ku ttemu erigenda mu maaso mu bitundu bya Uganda ebyenjawuulo nasaba nti enjogera ya Tukyanonyerezza ekome kubanga tewa makulu, wabula okumal;amu amaanyi.
Katikkiro agamba nti ettemu, ekibba ttaka nebyokujja ekkomo ku myaka gyomukulembeze we gwanga mu kiseera kino, biraga embeera etali nnungi eri mu gwanga.
Ono abadde Mmengo amagombolola egenjawulo okuva mu masaza okubadde SSingo, Kooki, Mawogoola ne Bugerere bwegabadde gakiise embuga mu nkola yaluwalo lwaffe.
Bano baguze Satifikati ezisobye mu bukadde 7.