Nga ekyeya kikyakaabya bannayuganda akayirigombe, abayisiramu olwaleero bakulomba edduwa okuwanjagira Katonda atonyese enkuba.
Ekyeeya kirese ebitundu ebisinga bikalu nga era ebisolo bingi bifudde yadde nga enkuba ebadde esuubirwa okutonya omwezi guno.
Disitulikiti Kadhi wa Kampala Sheikh Suleiman Ndirandwa ategezezza nga nga edduwa bwegenda okubeera ku muzikiti gwe kibuli ku ssaawa 4 ezokumakya.
Ndirangwa agamba y’essaawa abakkiriza okudda eri Katonda bamwegayirire enkuba etonye.