Skip to content Skip to footer

Eyabbye amatooke awonye okuttibwa.

Bya Malik Fahad.

Police mu district ye Sembabule  mu gombolola ye Kyabi  etaasizza omuvubuka wa myaka 25  nga ono abatuuze babade basazeewo okumutta lwakubba matooke.

Ibrahim Mubiru omutuuze we Busabala mu gombolola ye Kitanda e Bukomansimbi yaawonye okufa ,abatuze bwebamusanze nga akalakaala n’enkota z’amatooke 3 zeyabye.

Ono amatooke abadde agabye mu nimiro ya  Nyansiyo Kiyimba.

Ayogerera police yeeno Lameck Kigozi agambye nti mubiru bamudusizza mu dwaliro okufuna obujanjabi , bwanawona ategeeza police lwaki yabadde abye amatooke gano.

Leave a comment

0.0/5