Bya Malik Fahad.
Police mu district ye Sembabule mu gombolola ye Kyabi etaasizza omuvubuka wa myaka 25 nga ono abatuuze babade basazeewo okumutta lwakubba matooke.
Ibrahim Mubiru omutuuze we Busabala mu gombolola ye Kitanda e Bukomansimbi yaawonye okufa ,abatuze bwebamusanze nga akalakaala n’enkota z’amatooke 3 zeyabye.
Ono amatooke abadde agabye mu nimiro ya Nyansiyo Kiyimba.
Ayogerera police yeeno Lameck Kigozi agambye nti mubiru bamudusizza mu dwaliro okufuna obujanjabi , bwanawona ategeeza police lwaki yabadde abye amatooke gano.