
Poliisi y’ensi yonna wano mu ggwanga wamu n’abatwala eby’okwerinda mu eggwanga lya Kenya, batandise okwekenenya amawulire agalaga nti waliwo abasajja 2 bakwatiddwa nga bateberezebwa okutta Shiekh Hassan Kirya.
Okusinzira ku mawulire okuva mu ggwanga lya Kenya, abakwatiddwa kuliko Malcom Lukwiya ne Emmanuel Oneka nga bakwatibwa mu kitundu ekimanyiddwa nga Kabete mu kibuga Nairobi.
Bano bateberezebwa okuba n’akakwate ku banakulakala aba Islamic state.
Akulira poliisi y’ensi yonna Asan Kasingye agambye nti batandise okwekenenya amawulire gano.
Yye ssabasumba w’essaza ekkulu erya kampala Dr Cyprian Kizito Lwanga avumiridde ebikolwa by’okutta abasiraamu ebigenda mu maaso mu gwanga.
Lwanga agambye nti ebikolwa bino si bya Katonda.