Bya Samuel ssebuliba.
Police mu Arua etandise okunonyereza kungeri abatuuze gyebatabuseemu okukakana nga bateekedde bus omuliro nebengeya
Ayogerera police yeeno mu West Nile Josephine Angucia agamba nti bus eno yabadde eva Koboko okudda e Kampala wabula bweyatuuse ku kyalo Enzeva mu gombolola ye Arivu nekoona omuntu, kyoka omugoba waayo nagezaako okuduka.
Ono agamba nti bino olwagudewo abadde avuga bus ne kondakita nebaduka, kyoka abantu nebatabuka nebookya bus nabuli kyabadde munda nekisaanawo