Poliisi ye Mukono eriko namukadde ow’emyaka 70 gw’ekutte lwakusobya ku kawala ak’emyaka 9 keyazindukirizza mu kabuyonjo.

Rusokye omutunzi w’engatto nga mutuuze ku kyalo Namuyenje, kigambibwa okuba nti yalondodde akawala kano okutuuka mu kabuyonjo n’akagagambula obumuli.
Maama w’omwana y’awulidde amaloboozi agalajana mu papusika n’ayita banne nebakwata sseduvuutu ono.
Akulira okunonyereza ku misango ku poliisi ye Mukono Henry Ayebare akakasizza okukwatibwa kw’omusajja ono era wakugulwako gwakujula bitanajja.