Bya Shamin Nateebwa.
Edwaliro ekulu elye Mulago liwakanyizza ebyayogeddwa ministry y’ebyobulamu bweyategeezeza nti egenda kusindika abasawo b’amaggye e Mulago okuyambako mukujanjaba abalwadde.
Kinajukirwa akawungezi akayise Dr Ruth Acheng yategeezeza banamawulire nti bagenda kusindika abasawo b’amagye e mulago bajanjabe abasawo mukaseera kano nga abasawo ba govument bekalakasizza.
Musasi waffe Shamim Nateebwa aliyo atubulide nti ayogerera edwaliro lino Enock Kasasira akakasiza nti tebanalaba ku musawo wamagye yenna okuva ku makya
Wabula bwetwogedeko n’ayogerera amagye ge gwanga Brig Richard Kalemire agambye nti beetegefu okugabana abasawo abatono bebalinawo ne dwaliro lye Mulago, wabula nga kakano bakyakunganya dagala na bikozesebwa.