Bya Ruth Anderah
Omulamuzi wa kooti e Rugungiri Julius Borore omusango gwa munna FDC Dr. Besigye, Ingrid Turinawe ne Patrick Amuriat agwongezaayo okutuuka ngennaku zomwezi 20th Feb 2018 wamu nokweyimirirwa kwabwe.
Abasattu bano bavunanibwa okukuma omuliro mu bantu mu lukungaana lwebaali bakubye mu munipaali eye Rukungiri ekyavirako akanyolagano kabawagizi ne poliisi, omwafiira omuntu omu.
Bano nabalala abatanakwatibwa bavunanibwa nemisango emiralala egyobutemu, okugezaako okutta nokuumya omusirikale wa poliisi.
Okusinziira ku luidda oluwaabi emisango bajizza ngennaku zomwezi 18th October womwaka guno poliisi bweyali egezaako okutangira obutakuba olukungaana lwebagamba nti lwali lumenya mateeka e Rukungiri mu kisaawe.
Police wetwogerera eyimiriddwa okwetolola eekibuga ne kooti, ekisubirwa nti wandibaawo entegeka okuddamu abavunananwa okubakwata olwaleero.