Bya Magembe sabiiti
E Mubende entiisa ekedde kubuutikira batuuze, nga kino kidiridde abatamanya ngamba okuyingirira amaka g’omukyala ow’emyaka 55 kko nebazukulube basatu nebabatta.
Omukyala atiddwa ye Specioza Nalugwa omutuuze we Kyampitsi mu gombolola ye Kabalinga, kko nebazukulube okubadde Sarah Mamata owemyaka 17, Fred Musasizi owemyaka 2 , ne Specioza Nakacuwa owemyaka 4 gyokka
Abatuuze bagamba nti omukyala ono Nalugwa aludde nga afuna okutisibwatisibwa okuva ewa mukodomiwe, nga amulanga kutabangula makaage ekyaviirako nemukyalawe okunoba .
Mukaseera kano police ekutte omuvubuka ono John Sebaduka, nga ono era yali yakaligibwako ku misango egyobutemu