Amawulire
Abasomesa bayimirizza mu keediimo
Abasomesa bayimirizza akeediimo kaabwe
Kiddiridde enkiiko ezitali zimu zeebatuddemu ne gavumenti
Ssabawandiisi w’ekibiina ekigatta abasomesa ekya UNATU, James Tweheyo agamba nti bayimirizzaamu okuwa gavumenti obudde okukola ku nsonga zaabwe
Tweheyo agamba nti gavumenti bagiwadde ennaku 28 nga zino ziggwaako nga 2 omwezi gw’ekkumi n’ogumu.
Abasomesa era banjizza ensonag zaabwe endla ezibaluma omuli gavuumenti okusindika ekikereezi ensimbi z abonna basome n’ebamu okubeera nga bagyibwa ku lukalala lw’abasasulwa
Tweheyo asabye abasomesa okugira nga basomesa ng’enteseganya bwezigenda mu maso.