Bya Damalie Mukhaye
Omuwaabi wemisango kulwekitongole kya polisi, Katherine Kusemererwa aliko emisango 2 gyajje ku eyali omuddumizi wa poliisi mu district ye Buyende, Muhammad Kirumira olwobutaba na bujulizi bumala.
Kusemererwa ategezeza nti abajulizi bebabadde nabo babadde besomye okutabanguka ssinga babakase okujulira nga balumiriza Kirumira.
Ono babadde bamulumiriza okukonjera ssbapolisi we gwanga Gen Kasle Kayihura, okukolagana nabamenyi bamateeka.
Ssentebbe wa kooti ya poliisi Kirumira gyebamuvunanidde Denis Odongpiny, akiriziganyizza noludda oluwaabi okujjayo emisango gino.
Kooti eno etude wali e Naguru, ngoluvanyuma omuvunanawa kitegezeddwa nti wakukomezebwawo ku lwokubiri lwa wiiki ejja okuwulira okusaba kwe okwokweyimirirwa.
Kinajukirwa nti Kirumira yakatwaibwa okuva mu maka ge wali Bulenga nga 1st February.
Kati mu bibaddewo mu kusooka, Kirumira aleetedwa mu motoka ya police etambuza abasibe okuva e Nalufeenya gyabadde aggaliddwa, nayingiziddwa mu kasenge omutudde kooti eno, ekwasisa empisa.
Twogedeko ne taata wa Kirumira Baker Kawoya navumira engeri mutabani we gyayisibwamu.