Skip to content Skip to footer

Abatunda ebitabo ebigingirire.

Bya Samuel Ssebuliba.

Ekitongole ekikola ogw’okulwanyisa abacupula ebitabo ebiwandiika ekya Uganda reproductions rights organization bategeezeza nga bwebakutte ebitabo ebisukka mu mitwalo  60,000, nga bino byonna bibadde byayokebwamu awatali lukusala lw’abanyinibyo abaabiwandiika.

Twogedeko ne Charles Bitambuze nga ono y’akulira ekibiina kino n’agamba nti ebitabo bino okusinga biggidwa wano ku Nasser Road, era nga ababde bakikola musanvu bakwatiddwa

Ono agamba nti wano mu uganda kimenya mateeka okumala kayokesa mu kitabo kyomuntu nga tamze kukuwa lukusa, kale nga bona abakikola bagenda kukwatibwa

Leave a comment

0.0/5