By Tom Angulin.
Olunaku olwaleero egwanga lya Rwanda lwelijukidde nga bwegiwezze emyaka 24 bukyanga kitta bantu kiggwa mu gwanga lino okukakana nga abantu abasukka mu mitwalo 8 battidwa mungeri eyesisiwaza.
Kati wano mu uganda twogedeko n’omubaka wa Rwanda mu Uganda major Frank Mugabaja n’agmba nti ekikangabwa kino ekyagwawo kyabayigiriza kinene , kale nga tekiyinza natte kuddamu kugwa mu gwanga lino.
Kati ono agamba nti baazula emiwaatwa gino wegyava , kale nga y’ensonga lwaki eby’okukuririza mu mawanga, kko n’amadiini mu Rwanda babiviirako dala bonna beeraba nga baaluganda.
