Skip to content Skip to footer

Okuwandiisa abagala okwegatta ku maggye kujjumbiddwa

Katumba wamala

Ebikumi n’ebikumi by’abantu okuva mu bitundu bye Rwenzori beebeyie mu barracks ze Muhoti mu kuwandiisa abajaasi b’eggye ezizibi mu district ye Kabarole.

Omwogezi w’ekibinja ky’amaggye ekya 305 Lt. Ninsiima Rwemizuma ategezezza nga eggye lya UPDF  bweriluubirira okuwandiisa abo abanyuka amaggye, n’ab’okubukiiko obukuuma ebyaalo  130.

Agamba abantu abasoba mu 500 okuva mu distitulikiti okuli Kasese, Kamwenge, Kyegegwa, Kyenjojo, Kabarole, Ntoroko ne Bundibugyo bebeeyiye mu barracks okugezesa emikisa gyabwe.

Bbo abasoba mu 50 bakwatiddwa n’empapula z’obuyigirize enjingirire nebaddizibwa eka nga era okuwandiisa kukyagenda maaso.

Leave a comment

0.0/5