Skip to content Skip to footer

Ababaka baagala ebimotoka ebivuga ebikajjo birondoolwe.

Bya Samuel Ssebuliba.

Ababaka ba palamenti mu bitundu bye Busoga balaze obwenyamivu olw’obubenje obweyongedde ku ngudo z’omubitundu bino, naddala nga buva ku bimotoka ebitambuza ebikajjo.

Eno ensonga ereeteddwa  omubaka we Bunya East Waira Majegere , nga agamba nti ebimotoka bino bitambula ekiro, kyoka nga tebirina mateeka.

Kati ono agamba nti abaduumira polisi ekola ku biduka bagwana batuule wamu bakaanye kubutya bwebagenda okukola ku nsonga eno nga abantu tebanagwawo. 

Mukwanukula minisita akola ku nsonga z’omunda mu gwanga Obiga Kania agambye nyi agenda kufuba okulaba nga ensonga eno erondoolwa.

Leave a comment

0.0/5