Ebyobulamu

Endwadde ezitafibwaako

Ali Mivule

September 30th, 2013

No comments

elephantiasis

Ekibiina ky’ensi yonna ekikola ku by’obulamu kyakutongoza enteekateeka enakendeeza ku  ndwadde ezitatera kufiibwaako.

Enteekateeka eno eganda okumala emyaka 5 yakuwemmenta obukadde bwa doola 55.

Akulira ekibiina ky’obyobulamu, Dr. Wondimagegnehu Alemu agamba nti kikakakata ku buli gavumenti okussa ensimbi mu ndwadde zonna okukendeeza ku muwendo gw’abafa.

YYe akulira ekibiina ekikola ku ndwadde ezitafiibwaako, Dr . Edridah Tukahebwa agamba nti ezimu ku ndwadde ezitafibwaako kwekuli enjoka z‘omu lubuto, enjovu, obulwadde bw’amaaso n’endala.