Bya Ndaye Moses.
Abazadde abalina abaana mu masomero aga Bridge international agaze gagalwa bategeezeza nga bwebaagala okuwayaamu ne minisita akola ku by’enjigiriza Janet Museveni boogere ku nsonga y’amasomero gano agasoba mu 60 agaze gagalwa.
Bano nga bakulembedwamu ssabawandiisi w’ekibina ekitaba abazadde nabasomesa ekya National Parent’s & Teachers’ Association Nasazi Nowerina basabye government okukyusa mu nkola egenda mu maaso gyebagamba nti yakukosa eby’enjigiriza bye gwanga.
Bano webaviirideyo nga Government yakaggala amasomero agasoba mu 60 okwetoloola egwanga lyonna.