Bya Lukeman Mutesasira
Omutendesi wa Police FC Abdallah Mubiru okuwangulwa omupiira gweggulo, akitadde ku bamu ku basambi abenkizo abajiddwa mu club eno mu nnaku eziyise.
Ebiralala agambye nti batendekeddwa ennaku 4 zokka, nga zabadde ntono okwetegekera omupiira guno.
Ayozayozezza Vipers ababawangudde goolo 2-0, mu Semifinalolo za Stanbic Uganda Cup ku FUFA technical centre e Njeru, ngagambye nti amaanyi kati bagenda kugazza mu liigi yegwanga.
Omupiira gwa semi-final omulala gugenda kusambibwa ku Lwokuna BUL FC bwakubefuka ne Express FC.