Skip to content Skip to footer

Museveni akakasizza bannayuganda ku by’okwerinda

File Photo: Museveni nga wubirako abantu
File Photo: Museveni nga wubirako abantu

Omukulembeze w’eggwanga  Yoweri Museveni akakasizza bannayuganda ku by’okwerinda byabwe nga bagenda okulonda abakulembeze baabwe abenjawulo ku disitulikiti.

Pulezidenti agamba afunye amawulire nti abalonzi wamu n’abalondesa batiisibwatisibwa n’ekigendererwa eky’okubalemesa okwetaba mu kulonda kw’olunaku olwaleero.

Wabula Museveni agamba nga okulonda kw’obwapulezidenti bwekwabadde, n’okulonda kwaleero kwakubeera kwamirembe.

Ate bbo bannakisinde kya Go Forward  abakulemberw eyabadde yesimbyewo ku bwapulezidenti Amama Mbabazi balabudde ab’akakiiko k’ebyokulonda okwewala okuvuluga okulonda kwaleero.

Omwogezi w’ekisinde kino  Josephine Nkangi agamba baagala okuvuganya okwamazima era n’alabula poliisi obutageza kutulugunya ba agenti baabwe.

Wabula akakiiko k’ebyokulonda kakkatirizza nga okulonda kuno bwekugenda okubeera okwamazima.

 

Leave a comment

0.0/5