
Waliwo ekibinja ky’abavubuka abagenze batimba ebipande wano mu Kampala ebiriko obubaka obubanja enongosereza mu mateeka g’ebyokulonda nga okulonda tekunatuuka.
Bano kawefube waabwe bamutuumye “Red top” nga era ebipande bitimbiddwa okwetolola ekijukizo ky’amefuga, ekibangirizi kya ssemateeka ssaako ne kanisa ya Kampala Pentocostal church.
Ebipande bino era bitimbiddwa e Masaka, Mbale, Iganga ne Kyotere.