Bya Ivan Ssenabulya
Ngabesimbyewo mu kulonda kwa Jinja East bafundikira campaign olwaleero, bbo abaekibiina kya DP basabye akakiiko kebyokulonda, poliisi nebitongole byonna ebikwatibwako okuwa abalonzi omukisa okwesalierawo omukulembeze gwebagala.
Omumyuka wakulira ebyamawulire mu kibiina Fred Mwesigwa agamba nti abantu batekeddwa okwesalairwo obutabasiiko Muntu ku mpaka.
Kyo ekibiina kya DP mu kulonda kuno kyawagira owa FDC Paul Mwiru, nga nakawungeezi kano basitudde okwolekera betabe mu lukungaana olwawamu olusembayo.