Ebyobusuubuzi

Uganda amabanja gagituuse mu bulago.

Ivan Ssenabulya

April 5th, 2018

No comments

Bya Samuel Ssebuliba

Government esabidwa okwanguwa okumaliririza project zonna ezivuggirirwa ensimbi zeyeewola okuva e bunayira, olwo ansimbi ezinavaamu ziyambeko mukusasula ebanja kaakano eritutuuse mu bulago.

Alipoota eyakoleddwa akakiiko ka parliament akakola ku by’enfuna , nga erambika uganda bweyimiridde  mu byenfuna wakati wa 2015-16 and 2016-2017 , kizuuse nga ebanja lya uganda lyakula n’ebitundu 15%, kwegamba okuva kubwesede 29  okutuukira dala ku bwesedde  34, kale nga kino kitadde egwanga mu katyabaga

Bwabadde asoma alipoota eno mu parliament akawungezi ak’eggulo, amyuka ssentebe w’akakiiko kano omukulu Lawrence Bategeka  agambye nti mukaseera kano embeera gy’etulimu sinungi, kale nga project zonna zikyagaanye okuggwa zigwana zitekebwemu amaanyi, songa mungeri yeemu ekyokwewola ensimbi nga zakulya buli kigwana kikome, ensimbi ezewolebwa zibeera nga zigenda mu bintu ebigassa ebyanfuna