Bya Samuel Ssebuliba.
Wetwogerera nga akooti ya Ssemateeka etude e Mbale atandise okuwulira omusango abantu eb’enjawulo mwebawakanyiza eky’okujja ekomo ku myaka gy’omukulembeze we gwanga.
Wabula kooti eno nga etandika wabadewo okusika omuguwa, omu kubaawaba omusango guno Male Mabirizi era na yeyewolereza bwasazeewo okutuuka ku mwanjo ne banamateeka, kyoka abalamuzi nebamutabukira.
Amyuka ssabalamuzi Owinyi Dollo amusabye yesegule , nga amugamba nti newankubadde yaagenda okwewolerereza, talina buyinza bweetuza ku mwanjo, kubanga simunamateeka ali kussa eriwoza mu kooti.
Kyadaaki ono wakati mukuwalira akiriza okwesegula, nebamufunira akatebe mukifo gyagwana.
Mukaseera kano kooti etude, era abali mumusango guno bakyagenda mu maaso nokweyanjula, kko nokubaako ensonga z’ebakaanyako.