Bya Kyeyune Moses.
Waliwo abakyala abavudde mu kitundu kye Hoima ewasimwa nate abazeemu okuteeka govumenti kuninga nga basaba ekola ku nsonga z’okubasasula nga bulyali naddala abo abaasengula.
Bano okusinga nga bakyala banamawandu badukidde eri ekibiina ekitaba ababaka abakyala, nga baagala bayambibwe mu bunambiro.
Bano mukujja babade bakulembedwamu Christopher Opio okuva mu gombolola ye Buseruka , n’agamba nti okuva mu mwaka gwa 2012 babade balinda kusasulwa, kyoka nga government yebuzabuza.
Kinajukirwa nti mu mwaka gwa 2012, government yatwala etaka ly’abantu kubugazi bwa square kilometer 29 , nga bino byebalo nga 3, kyoka nakaakano bano abatuuze baafuka momboze mpaawo yali abasasudde
Mukaseera kano abatuuze 7000 bali kunguudo.