Bya Abubaker Kirunda.
Police e Jinja eriko emundu ekika kya AK47 gyezudde okuva mu kaabuyonjo, nga eno ebadde etutte ebanga nga ekwekeddwa mu kifo kino.
Twogedeko n’adumira Police ye Kiira Onesmus Mwesigwa n’agamba nti emundu eno esangiddwa ku kyalo Edogolo mu gombolola ye Mafubira.
Ono agamba nti emundu eno ezuulidwa omutuuze eyabadde egenze okweyamba, bwatyo natemya ku police
Kati police etandise okunonyereza ku mundu eno.