Skip to content Skip to footer

Kooti ya Ssemateeka tenasalawo ku ky’okukunya sipiika wa palamenti..

Bya Ruth Anderah.

Kooti etaputa ssemateeka mu Kaseera kano etudde e Mbale egibye okwemulugunya kw’abantu bana, kwabo omwenda abaali bagenza mu kooti eno nga bemulugunya ku kyokujja ekomo ku myaka gyomukulemebeze we gwanga.

Kinajjukirwa nti abantu mwenda  bebaali batuteyo okwemulugunya kwabwe, wabula kubano  4 okwemulugunya kwabwe kugobeddwa , kale nga kino kitegeeza nti kati wasigadewo okw’emulugunya kw’abantu 5 bokka.

Abamu kubagobeddwa kuliko Benjamin Alipanga ,Dr Abed Bwanika nga bano bategeezeza nti ensonga zaabwe zayitako, kko nabalala.

Wakati mumusango guno  omukulu Male Mabirizi omu kubeemulugunyaa akalambidde n’agamba nti yeetaga Sipiika wa Parliament ayitibwe mubuntu abeewo mu kooti eno abeeko ensonga z’anyonyola.

Ono mukunyonyola agambye nti Kadaga yeetaagibwa kubanga yeyakubiriiza entuula za parliament zonna ezayisa ebago lyeteeka lino, teyakoma okwo n’agoba n’abamu kubabaka ba parliament nga abalanga ku mujemere okukakana nga tebalonze.

Wabula ye munamateeka wa government Mwesigwa Rukutana eky’okuyita sipiika akiwakanyizza, nga agamba nti ono alina amateeka agamubikirira okweyoleka mu kooti eno.

Mu kaseera kano kooti  tenasalawo oba sipiika anayitibwa okw’ewozaako mubuntu nga Male bwayagala.

 

 

 

Leave a comment

0.0/5